Psalms 105

1 aMwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye;
amawanga gonna mugategeeze by’akoze.
2 bMumuyimbire, mumutendereze;
muyimbe ku byamagero bye.
3Mumusuute, ng’erinnya lye ettukuvu muligulumiza;
emitima gy’abo abanoonya Mukama gijjule essanyu.
4 cMunoonye Mukama n’amaanyi ge;
mumunoonyenga ennaku zonna.

5 dMujjukirenga eby’ekitalo bye yakola,
ebyamagero bye, n’emisango gye yasala;
6 emmwe abazzukulu ba Ibulayimu, abaweereza be
mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.
7Ye Mukama Katonda waffe;
ye alamula mu nsi yonna.

8 fAjjukira endagaano ye emirembe gyonna,
kye kigambo kye yalagira, ekyakamala emirembe olukumi,
9 gye ndagaano gye yakola ne Ibulayimu,
era kye kisuubizo kye yalayirira Isaaka.
10 hYakikakasa Yakobo ng’etteeka,
n’akiwa Isirayiri ng’endagaano eteriggwaawo nti,
11 i“Ndikuwa ggwe ensi ya Kanani
okuba omugabo gwo.”

12 jBwe baali bakyali batono,
nga si bangi n’akamu, era nga bagwira mu nsi omwo,
13baatambulatambulanga okuva mu ggwanga erimu okulaga mu ddala,
ne bavanga mu bwakabaka obumu ne balaga mu bulala.
14 kTeyaganya muntu yenna kubayisa bubi;
n’alabulanga bakabaka ku lwabwe nti,
15 l“Abalonde bange,
ne bannabbi bange temubakolangako kabi.”

16 mYaleeta enjala mu nsi,
emmere yaabwe yonna n’agizikiriza.
17 nN’atuma omuntu okubeesooka mu maaso,
ye Yusufu eyatundibwa ng’omuddu,
18 oebigere bye ne binuubulwa enjegere ze baamusibya,
obulago bwe ne buteekebwa mu byuma,
19 pokutuusa bye yategeeza lwe byatuukirira,
okutuusa ekigambo kya Mukama lwe kyamukakasa nti bye yayogera bya mazima.
20 qKabaka n’atuma ne bamusumulula;
omufuzi w’ensi eyo yamuggya mu kkomera.
21Yamufuula omukulu w’eby’omu maka ge,
n’akulira byonna omufuzi oyo bye yalina;
22 rokukangavvulanga abalangira be nga bwe yalabanga,
n’okuyigiriza abakulu eby’amagezi.

23 sOluvannyuma Isirayiri n’ajja mu Misiri;
Yakobo bw’atyo n’atuula mu nsi ya Kaamu nga munnaggwanga.
24 t Mukama n’ayaza nnyo abantu be;
ne baba bangi nnyo, n’abalabe baabwe ne beeraliikirira,
25 un’akyusa emitima gyabwe ne bakyawa abantu be,
ne basalira abaweereza be enkwe.
26 vYatuma abaweereza be Musa
ne Alooni, be yalonda.
27 wNe bakola obubonero bwe obw’ekitalo mu bantu abo;
ne bakolera ebyamagero bye mu nsi ya Kaamu.
28 xYaleeta ekizikiza ensi yonna n’ekwata,
kubanga baali bajeemedde ekigambo kye.
29 yAmazzi gaabwe yagafuula omusaayi,
ne kireetera ebyennyanja byabwe okufa.
30 zEnsi yaabwe yajjula ebikere,
ebyatuukira ddala ne mu bisenge by’abafuzi baabwe.
31 aaYalagira, ebiwuka ebya buli ngeri ne bijja,
n’ensekere ne zeeyiwa mu bitundu byonna eby’ensi yaabwe.
32 abYafuula enkuba okuba amayinja g’omuzira;
eggulu ne libwatuka mu nsi yaabwe yonna.
33 acYakuba emizeeyituuni n’emizabbibu,
n’azikiriza emiti gy’omu nsi yaabwe.
34 adYalagira, enzige ne zijja
ne bulusejjera obutabalika muwendo.
35Ne birya buli kimera kyonna mu nsi yaabwe,
na buli kisimbe kyonna mu ttaka lyabwe ne kiriibwa.
36 aeN’azikiriza abaana ababereberye bonna mu nsi yaabwe,
nga bye bibala ebisooka eby’obuvubuka bwabwe.
37 afYaggya Abayisirayiri mu nsi eyo nga balina ffeeza nnyingi ne zaabu;
era bonna baali ba maanyi.
38 agAbamisiri baasanyuka bwe baalaba Abayisirayiri nga bagenze,
kubanga baali batandise okubatiira ddala.
39 ahYayanjuluzanga ekire ne kibabikka,
n’omuliro ne gubamulisiza ekiro.
40 aiBaamusaba, n’abaweereza enkwale
era n’abaliisanga emmere eva mu ggulu ne bakkuta.
41 ajYayasa olwazi, amazzi ne gatiiriika,
ne gakulukuta mu ddungu ng’omugga.

42 akKubanga yajjukira ekisuubizo kye ekitukuvu
kye yawa omuweereza we Ibulayimu.
43 alAbantu be yabaggyayo nga bajaguza,
abalonde be nga bayimba olw’essanyu.
44 amYabawa ensi eyali ey’amawanga amalala,
ne basikira ebyo abalala bye baakolerera;
45 anbalyoke bakwatenga amateeka ge,
era bagonderenga ebiragiro bye.

Mumutendereze Mukama.
Copyright information for LugEEEE